Katonda bw’akuwa omuntu gw’osiimye kiba ng’ekirooto
N’omutunuulira nga yenna omwewulira era akusanyusa
Nze mazima nali nterebuka ng’anti oluddewo okutuuka
Ng’annoonya eyo laavu eri natural gye mpulira mu buyimba
Omuntu gwe sirina kye ntoma okugaya oba okukyusa
N’obukoowekoowe buubwo ku maaso era nabwo bulungi
Yadde ebigambo mu nsi bingi
Bimpeddeko mukwano
Nkugambe ki kyotalaba ku laavu enzijudde mu maaso
Bannange temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu
Temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu
Nkusuubiza nnyo okukkakkana mwami nze mbeere omukyala
Anaakuwa ekitiibwa ekisaana omulenzi ow’ekitiibwa
Couple yaffe ebakuba nnyo
Tumazeeyo omukwano
Abo tobafaako bambi aboogezi babaawo tebabula
Ng’akayimba akaweweeza
Akasirisa abaana
Njagala nkubeerere ntyo
Nga sikunyiiza bambi
Oli kintu eky’omuwendo
Abakyegomba bangi
Nsaba nkuteekeko akalambe
Bonna bakimanye oli wange
Bannange temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu
Temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu
Zaabu wange omutima gwe gwakulonda
Era nkwetaaga
Muli nkwesunga
Sembera kumpi nze nkwewe nzenna
Bwe mba kumpi naawe
Mba ntuuse eka
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.