Walumbe Zaaya Lyrics – Paul Kafeero

Walumbe Zaaya Lyrics – Paul Kafeero

Walumbe zaaya atukola bwati
Bakabasajja b’otugumbula otyo
Oli wa ngeri ki atayisa balungi?
N’abessimbo n’obafaggyiya otyo!
Laba bw’olekawo ab’emitwe emiyaaye
Oli wa ngeri ki atamanyi bateefu?
Onkutulidde ne guitar nsula nkuyimba
Komaaniina ogira okubulwa w’osula
Oli mubbi nnyo mundeke mulangire
Gw’ate tunaayogera ng’abali e bukoddomi?
N’owulira enduulu n’emiranga maama
N’abagagga abasikambula mu ma Benz
Laba obwamulekwa bwebwefuze Obuganda!
Lwa ttima olutulesa amabujje
Ne lufaakuuza n’abali e buziizi
Ne lulindiggula n’abali mu bire eyo
Lwa ndasi lulya n’abava e Bulaaya
Omutemu awenja ne mu nda z’abakyala
N’akunyuulayo n’obutonda maama!
Ate takuba miss n’obugi abugaaya!
Nkugambye luzibu tulya nalwo eka
Ne mu bifo awasanyukirwa luli eyo kyema
Luli mu nguuli gyetwekeserera eyo
Kale luzibu olwetiba atamidde

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baanabattu (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baanabattu (kitalo)
Kitalo, kitalo woowe woowe (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baanabattu (kitalo)

Kyokka ggeteggete ssebo walumbe
Nze luntunuza ng’atali musajja
Gw’atalina guitar wa gy’olaza abayimbi?
B’osomba obuliza etali siteegi
Aba reggae n’aba Bossa nova
N’aba Kadongokamu n’otugattika otyo
Ssebo gy’otutwala tetuli butuulo
Emagombe wala eyo etava kalungi
Na bonna be yetwala mpaawo alidda
Bali mu bibululu etava ddoboozi
Eyo mu nzikiza ewatali ttabaaza
Nange Paulo gyendaga ewala eyo
Mu ttambiro ly’eyo ewabunye entiisa
Era y’ewaabulira n’owuwo omulungi
Ky’ova ondaba nkuba guitar ngayaala
Na byonna byenkola tebimpa maanyi
Bannange essaawa y’okufa eriko ebibuuzo
Ate nebyanukulwa bityo engeri entamiivu!
Ky’ekitawaŋŋanya nange eyalya amabanja
Ebirinjogerwako awatali kuwuuna
Bwentyo neneewunika nemba ng’omukyawe
Ani alinjulira ndiba nziyidde oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)

Lusika abanene ababunye ebitiibwa
Nerukkalira lubuukulire ng’omwo
Ab’emibiri egyeyiwaayiwa abo
Ssebo bonna terubatiisa maaso!
Lubawereba puleesa n’alusa oyo
Nebasindogoma n’olutya lusajja!
Neruyingirira n’amaka amalungi
Neruleka ebifulukwa ndifa ndulojja
Eyo ewajjanjabirwa eno ensi yafa dda
Balala lubazingirako waka eyo
Lwa ttima olutwenyaza mu baana
N’ofuuka ekyenyinyalwa bwotyo
Leero n’ofa ng’oweddemu omuwendo
Kw’ogatta n’obulumi obw’ekika ekibboofu
Lugaba n’emitima egy’ekinyanya mwattu
Mu bantu bannaffe be tunyumya nabo abo
Oli n’akusanjaga awatali kutyanamu
Naatakubya ngeri ki gy’olekamu mabujje!
Oluusi omuntu ng’oyo abeera n’ababe eka
Gw’ababo nebaba ng’abatali baana
Abagumba b’emitwe abo bantama nze
Abatusuza twaziirana mu miranga
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo, kitalo woowe woowe (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo, kitalo nedda nedda (kitalo nnyo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Labayo ab’ensusu embi bo abatiini
Basinduka baweddemu omuchuzi
Abalungi n’ababi bonna abagasse
Njagala ndabe ku lulimi lwa Walumbe
Olwo olugattika ebikaawa n’ebiwoomu
Oba Mabiriizi lwamulya ngayadde!
Ndowooza lwanniimisa ntamidde
Munnange omuto eyali amanyi okuyimba
Ate nga nange lummanyi eddoboozi
Kale kyenva nnumira mu byentera okuyimba
Tulabye n’obulumi obutagenda kuggwa
Kino kitalo nnyo kitalo baana battu
Afazaali singa abazaawa badda
Nebatubuulira bw’efaanana ewala eyo
Abalenzi abaali ab’ebitiibwa
Bonna lwabayuza amasuuti
Luulwo ne mu byana by’abagagga
Lukonjobola ng’olusa obuwunga
Lwandasi lulya n’amanyi Oluzungu
Teluliiko musomi na mukaafiiri
Eyo ennyanja lwagimalamu obukejje
Naye ate nze aweramu guliivi oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)


Mulabe obwama bwe bwefuze abateefu
Beekengera zzisabusolo oyo
Twegeya atuli kumabbali awo
Baka banene nze mmutya okubaasa
Kyokka bw’olowooza okufa nga wenyazenyaze
Kufa bweriri tteeka n’oyoya ekikutuko
Mpaawo n’asobola kwawula mu nfa ye
Wabula twekanga lumaze okutuuka
Buli omu n’engeri ye nebweba ya kikangabwa
Mpaawo musanvu gy’okitega maama
Nazaala wange ye singa amusonyiwa
Anzaalira omukuuma ka omulungi
Owange mpa oluguuli nnywe ndabe gwe
Abawoza kiki agunywa engeri eyo?
Kati olwo nnywe peterooli nz’atali mmotoka?
Oba mu mmotoka mwe baba bayiwa enguuli?
Nze ssiwubwangako kuva ku ndeku awo nedda
Oyo aneenyinyala angobanga ewuwe eka
Mwenge gwegutuga abafa ebikutuko?
Oba gwegutirimbula obuva ku mabeere?
Ye gwe atanywa olifa otya nkubuuza?
Leka nno bajje bakkube ogubundu
Olyoke omanye bwe tutudde mu giraasi
Nti ziizino zafuuka miggo buggo
Eno ensi okugyamuka n’entaayi tesala
Nze ndeka nemmiima lulinzita ntamidde
Luno lulya n’obukazi obutanaaba maaso!
Lwamalako terweganya bicaafu yiiyi!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo, kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo, kitalo woowe woowe (kitalo nnyo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)

Lufumbiikiriza abakola entegeka
Bwerubasanga mu makubo tebadda waabwe
Kati ku mpya ludibizaayo abalungi
Nebabula anyeenya luli olutyanga
Labayo ennaku bweyeefuze abasajja
Okuyita mu makubo ng’abatalina maaso
Luno lutwepankiddeko nkugambye
Okufulula abamanyi Oluganda
Ebirungi lutubiresa awo, ha!
Naye kale Mukama bwatyo
Nerusattulula abafumbo abalungi
Omwagalwa wo n’aserengeta ewala eyo
N’osigala ku bwa ssemwandu bw’otyo
Ofunda n’obwa luli naye ate obwa luno
Nerusiikuula abaateesa obulungi
N’olaba amatemu bwegayitiŋŋana awo
Obugumba n’obuwuulu byotatya gwe?
Byerusibye mu mayumba g’abasajja
Luwalampye n’e Makerere mu bagunjufu, diguli luzibalese emitwetwe
Kyokka ayi Mukama olina obusungu
Okutuliyisa essango eritazzibwa ffe!
Jajja w’olulyo eyasobya gy’oli
Gwewandibonerezza n’okoma okwo
Naye ffe kaakano tulinga baana
Abataamanya kyaliwo okusooka
Ssinga lulya nguzi awo kyandibadde wadde
Nange nandipakasizza nengulirira
Labayo ezaali entumbwe z’abalungi
Giringa minyolo gya bu namunjoloba
Oyo tolaba enkompe mwatunuulira kati
Ssebo bonna baali bantu ba muwendo
Ab’embuto ezibooleka ebisente
Basongodde lwabaganzika eyo
Kye twalya twandikizizza gye kyava
Okusinga okuziraga tuti
Ye ne bwe n’awoloma emiti okukuuka
Mpaawo kirikyukako yarabbi
Mbasiibudde nsaasira abalwadde
Mukama waffe abaŋŋumize bambi
Nensabira n’abali ku lukuusi
Ddunda abawe ekiwummulo ekirungi
Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja
Luzibu nnyo lukambwe baana battu
Olusibira mu bbwa luno ndifa ndulojja nze
Luzibu nnyo lukambwe baana battu oh!

Kitalo nnyo kitalo yaaye yaaye (kitalo)
Kitalo nnyo kitalo baana battu (kitalo)
Kitalo

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply