Eno essaala yange Mukama
Ngituumye mbeere muwanguzi
Nga nsabira omwaka guno, gube mwangu
Nsabira famire yange yonna Mukama
Taata tuwe obukuumi
Mpakanya agasiraani
Obutannumba ku mirimu gyange
Mu ssaala eno mpakanya n’ekyendwadde
Obutannumba n’abantu bange
Ne bw’oliba taata onyiize nnyo
Tonnamula n’obukambwe
Omubiri n’omwoyo gwange byonna Taata bibyo
Mu biseera by’okunyolwa tonvangamu
Bwe ndiba nga nkaaba jangu onsirise guno omwaka
Eeh omwaka guno
Nsaba ogumpe
Eh Mukama
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Eeh Kabaka wange
Nsaba ogumpe (oh Mukama)
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Oh
Oh
Oooh
Ekkubo ly’abalabe bange liwe ekizikiza, era n’obuseerezi
Bw’olabanga ntuuse okwegaana ntwala
Naye mpone okuswala
Ndikwebaliza mu kibiina ekinene, ayi Mukama
Ndikutendereza mu bantu abangi
Nsaba omwaka gw’obulamu ne ssente
Omutali maziga wadde naye okujaganya
Ebisiraani eby’obubenje
Byonna biwugule gye mpita Mukama, ooh
Nsaba ogumpe
Eh Mukama
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Eeh Kabaka wange
Nsaba ogumpe (oh Mukama)
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Ayi Mukama Katonda wange
Taata omwaka guno ngutadde mu mikono gyo
Oguntambulize bulungi
Gube gwa mirembe myereere ayi Taata
Mpa obulamu n’abantu bange
Onteeremu emikisa
Buli kizibu kyonna ekyandizze kinnwanire ayi Kitange
Kuba amaanyi gonna gw’ogalina
Eeh omwaka guno
Nsaba ogumpe
Eh Mukama
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Eeh Kabaka wange
Nsaba ogumpe (oh Mukama)
Mbeere muwanguzi mu buli kimu
Buli kye wampa tokinzigyangako
Wabula onnyongerangako bwongezi
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.