Huuu…
Heee…
Ndi wano ndowooza bwe wanjagalanga
Nzijukira bwe wambiita bambi
Nzijukira bwe wammatizanga, omukwano
Kyokka nga yo essaawa
Tedda mabega tekyakyuka
Bwentyo bwe nzijukira omukwano guli, ndwala
Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe?
Omukwano ogw’edda aah
Aliba ani alimbiita nga gwe?
Omukwano ogw’edda aah
Simanyi oba gulidda
Ebyo nno bimmazeeko obugezi
Era mpulira nsobeddwa
Kati kansale na busazi magezi
Kuba mpulira ŋŋenderera
Ninga empologoma, enoonya omwana gwayo
Empuuna malungu
Mu ddungu ly’omutima gwange bwe ziwuuna
Bwentyo ndi wano
Enjuba yange tekyayaka (tekyayaka)
Ndowooza omukwano ogwedda
Eeh mukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe?
Eyo love ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe?
Omukwano ogw’edda aah
Simanyi oba gulidda
Hee eeh, eeh
Simanyi okimanyi kye ŋŋamba gwe
Ng’olina omuntu gwe wayagala edda
Gwe wasiima n’oganza
Omutima nga tegunnaba kukoowa nnyo
Ebiddawo tebyenkanankana anti
Yadde abalungi ndagalannamu mwattu
Naye omuntu eyakusensera obwongo teyesonyiyika
Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe, eeh!
Eyo love ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe, uuh!
Omukwano ogw’edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe, eeh!
Eyo love ey’edda
Aliba ani alimbiita nga gwe, eeh!
Eeh mukwano ogw’edda aah
Simanyi oba gulidda
Gwagenda, gwagenda
Simanyi oba gulidda
Ogw’ennaku zino gulimu amakoona
Simanyi oba gulidda
Oba omutima gwamenyeka
Gunyige, gunyige
Simanyi oba gulidda
Byo ebirungi bwebityo tebiggwa buwoomu so
Simanyi oba gulidda
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi
Simanyi oba gulidda
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi
Simanyi oba gulidda
Eeh ih
Eeh ooh eh
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.