Kino ssi kyangu kya kubagamba nti omuntu nga nze enkya mulina okunziika!
Naye ndulumira agenda okunzita, nti ensi tekungulwa aniigiina
Era ngyozayoza abampembe abalyevaamu nebabangawo enju yange
Mwendisiisira obulamu obujjuvu, nga mwenamusiza abansooka
N’alisobola okwewaayo n’atindigga muyogeeyoge nsiimye nno
Nekoliwaayo munnange nkeebaza, bonna abalisuza ab’ewange
Ebintu bwebiti mbyogedde ebiribuutikira abaligabana obuntuntu
Mukama bw’aliba annyambye nenfuna, ng’ebyobugagga mu nsi ye eno
Bwekiriba kityo nnyabo wange namwandu kye naalisabye weeyombekere
Sso lwewataliba akugoba nywerera, obwana bwo ofube obwolanga
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Buli omu kye mmanyi akyebuuza engeri emmanju gy’erikuumibwa ab’ewaabwe!
Na buli mulamu abimanyi ebya wano, nti bw’ofa n’ebibyo nga bizaawa
Era tusiibula twewaana n’omanya nga bw’owulumudde ennyumba ezo
Yiika z’ettaka oluusi n’obute, n’abaana n’olumu abazzukulu
N’abiddamu bwe yewaasiira, eby’ensega biwoomera abulwa ak’obuntu
Nga n’eyakuŋŋanya ebimweyagaza bwebityo, teyaziikwa mu ddiba lya nte
Nga wadde yalina ebyawoobwa nti buli ntaana n’eyomukopi ensonda nnya
Vva ku ba Pharaoh bano abaaluli, be basibirira ebyawundwa
Bakungubazi baataamuuse ow’omululu ne bulangiti agyetikka
Bajula na bino nabyo kubyetiba, by’ebyo ebisangwa mu mpya zaffe
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Leero n’otunuulira ebyonziira ne gwe wawa siringi n’amera akwegaana
Sso ng’omugaso gw’okuwa mugandawo, kuyamba awo ng’ozaaye gwe
Ne bw’aba yeevuga ssebo wange akaana nekamwesibako nti ‘okuntwala’
Oluva emagombe ye tasiibula, mwejjuukiriza akuuliise
Ate alikomawo ataamuuse n’asaba namwandu bw’alina okudda eka
Era abiwona oluusi aganzibwa, bo we basobola okwetaasa
Kati alina obutaneetuuka okuŋŋaanyanga ebibyo nga bw’owaawaanya
Oba mmindi gy’onywako senvula, obwana bwo obuwe bweriire
Eby’emiziziko by’afuluka nebwobuna balooya n’okappa weerimba
Mpozzi ate bw’oleka abakulu waakiri, nebeegabanyiza ebyakumenya
Ne bizinensi twakuzikweka okuutire kabiite bw’alina okyebeera
Nti k’olyewaga bwe twazimbye e Kyambogo, nebakujeeza tonjuliranga
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Gwe nno wandiba omwerimbi n’ogamba nti ewaffe tekiringa eyo ate
Buno obunyazi bwa mweru obwa luno, byo ebintu by’abagenzi biwooma
Nze bwe bambuulira saatuula, n’alinawo bw’asugumbiza okwesunda!
N’olaba bwe bacankalanya ebyalekwa, nebatasaasira nnyabo wange
N’ekika ojula okyegaana ng’olaba kifumbekeddemu ab’amaddu
N’eyali talinnya wuwo k’alaba, nti oli bubi lw’attambaala
Sseruganda nkulaba oyenjebuse kinaaba kitya nga ssenkaaba akwetisse?
Mu baliwo kati nze munyumungufu, gwo ogw’obukuza kangwetikke
Ddala kki tokuluusana weekolere tunaalaba okubeera n’empisa ensiiwuufu
Ky’ova olaba afunye oluusi baganda be, abeegobako lwa kwerinda
Kyalabwa ani ka neebuuze mulekwa banaayegeka wa ennaku yaabwe?
Olangirwa akuzaala wali akyebase, mu ddiiro n’otamwa eŋŋanda ezo!
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
N’abagumba ba twesiimya ky’ateeka mu ttama akimugunya yeesiisa
Nze munnakyaggwe munnamwe mbyamuse, omuntu yajjirwa okubbwanga
Baayize luno okwewoomya mbu bu kitawe ng’alese buto olumbe luno!
Olusiisira oluvaawo lwe balambula, ekibanja n’eggana mbewuunya!
N’okuzaala mu bakazi abangi batyo y’ensulo y’okwabuluzaamu ebyakumenya
Besungira ddala olunaku lw’olifa, owadangako obawe nga bukyali
Naye k’osumikirwa mw’abo batyo bakulunda oli tebakubuza obwekyuso
Nti ebintu bya kitaffe gwe wabyekomya, nga ne ke wafuna okeebuuza
Luno olumbe lwagabuludde buli alina amabujje ky’alina okwekaaba
Nkukkulumira abakuza okwekomya, ebintu n’ebula akkokoonya
Obulese tebuneetuuka ne webwandiggye ezibuweerera wangadde
Gula buli kirungi owe entumbwe zo, by’ebyo bakulu nsiibudde
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Obulamu bwebutyo
Tetwafuna bwa ddembe
Eyajja emiranga amajja, n’amagenda
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.