Nakusiima Lyrics – David Lutalo

Nakusiima Lyrics – David Lutalo

Ŋŋenda kunyiyisa amapenzi
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Njagala nkuyise nga queen
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nina love ennunge ne sukaali
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nkukubire obugoma n’amataali
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo

Aah, alwadde love tabula
Nali nfaananako eyawuguka
Nga mpulira ng’akalirirwa
Ddala nga mbulako awanirira
Nina ankuddemu ki lock (ooh)
Nfunye antaasa empewo
Oli kanyama ku luti ku kyoto
Kanvube nafunye eddobo
Nja kuba nkusanyula
Nkulayirira ojja kuba nga tojula (aah)
Mpulira nkuwulira
Mu musaayi olinga angugumula
Nze njagala obeere wendi (wendi baby)
Ng’ondiisa ku kagaati (ooh sweet)
Onyumira na kadaali, yiii!!

Ŋŋenda kunyiyisa amapenzi
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Njagala nkuyise nga queen
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nina love ennunge ne sukaali
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nkukubire obugoma n’amataali
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo

Ŋŋenda kukola nja kukulabirira weegombe katunkuma
Nja kuguma mu njala nga tonnafumba sirirya ne bwebankema
Omukwano gw’ampadde kandye ogwo
Kasita agusiisa muzigo
Tube babiri alitwawukanya y’ani olwo?
Aliba asitudde lutalo, ah
Sirikuta ne bwebalinkuba embooko
Kakube kusiigwa nziro, oh na!
Balimbuuza walya ku kikomando?
Ng’oli wa nnyondo! (aah)
Bambuuze nti naye oli commando?
Ng’omukuuma nnyo! (aah)
Oh no, ndibaddamu oyo waaba wembeera siseetuka kumunsuuza

Ŋŋenda kunyiyisa amapenzi
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Njagala nkuyise nga queen
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nina love ennunge ne sukaali
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nkukubire obugoma n’amataali
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo

Kati yoya ky’oyoya nkuwe
Kasita tebeera mmandule
Mukwano nsaba onsaasire
Lwa kwegumya naye njebye
Gwe laba bwemmaanya omutwe
Eno love erabika mpendule
Kankuwe bino byennina obirye
Bwebitakukkusa weeyongere
Wamma kwata
Buli w’onta mba ngwa
Kwata kwata
Make me feel better
Olinga nga sweater
Wooli kati nebwejja winter
Ommalako ennyonta
Osinga ku mazzi ne soda

Ŋŋenda kunyiyisa amapenzi
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Njagala nkuyise nga queen
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nina love ennunge ne sukaali
Mu buntu nakusiima yeggwe wandya omwoyo
Nkukubire obugoma n’amataali
Bambi nakusiima yeggwe wandya omwoyo

Double Kick
Yaled

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply