Movia Lyrics – Paul Kafeero

Movia Lyrics – Paul Kafeero

Ate bino byaddugalidde nze bukyanga nfuna essanyu
Mikwano gyange buno ssi bulimba sirina ddembe oh
Eby’ensi byaddugalidde nze bukyanga nfuna essanyu
Mikwano gyange buno ssi bulimba sirina ddembe oh
Maziga tegalirwa nnyo mu bantu abakusunga y’enjolo
Naye ne bwensiba omutima neekanga nfeesa era
Mu nsi okuvaamu sanditidde naye ne Movia antamye
Ani ayinza okumbugaana nve mu kyobeera?
N’obusonga obutaliimu, obutwala ng’ekikulu
Ng’ate bwempimamu nze nkiraba sirina musango nnyo!
Nafuba nenkuwa essanyu lyange, nenkussa mu cover
Nga gwe mmanyi omulungi teri mu nsi akunuukiriza
Tewaba waliwo abaakukyusa, ebikemo nkumu
Kuba buli gwembuuza bwatyo bw’atera okubigereesa oh!

Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula
Sinnazuula gy’osangibwa (oooh)
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula

Movia kankugambe nange, ebindaaza y’enjolo
Obw’omu bunnuma nga bulwadde naye ki onvaavaamu?
Movia kankugambe nange, ebindaaza y’enkumu
Obw’omu bunnuma nga bulwadde naye ki onvaavaamu?
Jjukira n’olumu nakutuuza byennaggamba y’enkumu
Twayawukana ndowooza omatidde ki ekindaaza
Lwaki oyagala ondaaze gw’eyankyayisa enkumu?
Bwembulwa ayinza okumpaana kikuwa ddembe muli?
Oba ng’essanyu lyo nnaku yange sikitidde k’onjeeze
Bulikya n’omanya abaakuwubya bwebatali mirembe nabo
Lwaki ompimisa amaaso bino ndibiwa ani bw’onkomya?
N’okulaajanira atali ku ky’oliko ofa miswalo oh
Oba ng’eyo y’ennamula eyo, weekubidde mu nsala
Nze eyali akuwa ekitiibwa lwaki onkyawa ye?

Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula
Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula

Lwaki ondeka mu bbanga olwo mbe n’ani bwenkoma?
Gw’eyali amanyi ennaku yange ki todda n’ondabako?
Ebbaluwa gyennali mmanyi eyakunyiiza eri gyewaggya mu nsawo
Bagimpa ngiwe mpola Muwagibu ewa Nalukwago oli
Ye ne lwewaggyayo ku album n’osangamu Racheal
Emmere yakulema era wanyiiga mukwano n’oyitawo
Nkunenya ndeka munnange ebikugambwa y’enkumu
Bangi abaluzunza batyo bwendi omwenzi ennyo
Abawala siggya beegaana ab’emikwano y’enkumu
Naye kyesigezaako mu ga Mungu kwekuganza ate
Naawe omanyi abantu baffe, beezira ali mu ssanyu
Buli ajja bw’alukuwa n’osigala ng’owuuma eh!

Ye naakukola ntya nze ku bintu by’ojje mu nkola?
Ye nkugambe ki ate kati gw’akyuse eby’embeera
Ekikulu wannema okutegeera embeera zo zennyini
Ebirungi n’ebibi obiraba n’obifuula ebyangu ate!
Waliwo lwenafuba okukunyiizaamu, nga tonnyega nnyabo
Bwentyo nemmanya ebyange nti waggyayo omwoyo yiii!
Nze ndaba ekijja okutuyamba by’osirika bya bbule
Yogera ebitera okukupangulula nfune kyenjiiya
Nange byessimanyi mbikubuuze ompe answer yennyini
Oba nga waliwo gwewasiima omulala ombuulire totya maama
Nja kubigamba ne ku Moze webituuse bya nkalu
Kuba y’ayinza okukuwooyawooya oba n’oteeka?

Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula
Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula

Ekikulu okusobya bwo butonde, saagadde wejjuse
N’okwevuma olunaku bambi lwewajja n’ondabako
Weewale abajja okukulimba, nsaba tudde ku bbali
Nze nkyali wuwo sifunangayo ate alikunzigyako
Ate oba waalinvumyenga nga nkusobezza awo kale
Naye kyewasalawo ssi kituufu okunsiriikirira
Kale byewansaba nabireeta nenkulinda dear
By’okola olinga agamba nti sirina musaayi yii!
Movia njagala ontanze ekingyamu kyogere
Ffa ku banzaala super wange ki onjulizanga nfe?

Sinnazuula gy’osangibwa
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula
Sinnazuula gy’osangibwa (oooh)
Ate ennamba yo ekikulu yangwaako
Ye toba nga wankaddiya
Osusse obutannambula

Toba nga wankaddiya
(Toba nga wankaddiya)
Toba nga wankaddiya
(Toba nga wankaddiya)
Sinnazuula gy’osangibwa
(Sinnazuula gy’osangibwa)
Sinnazuula gy’osangibwa
(Sinnazuula gy’osangibwa)
Ennamba yo ekikulu yambulako
(Ennamba yo ekikulu yambulako)
Ennamba yo ekikulu yambulako
(Ennamba yo ekikulu yambulako)
Toba nga wankaddiya
(Toba nga wankaddiya)
Sinnazuula gy’osangibwa
(Sinnazuula gy’osangibwa)
Ennamba yo ekikulu yambulako
(Ennamba yo ekikulu yambulako)

Toba nga wankaddiya
(Toba nga wankaddiya)
Toba nga wankaddiyaaa
(Toba nga wankaddiya)
Sinnazuula gy’osangibwaaa
(Sinnazuula gy’osangibwa)
Ennamba yo ekikulu yambulako
(Ennamba yo ekikulu yambulako)
Toba nga wankaddiyaaa
(Toba nga wankaddiya)
Sinnazuula gy’osangibwaaa
(Sinnazuula gy’osangibwa)
Ennamba yo ekikulu yambulako
(Ennamba yo ekikulu yambulako)

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply