Pawaz Entertainment
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Grey Town
Ayi Katonda
Nfukamidde mu maaso go nga nsabayo ka second
Ekindeese
Nsonga za mutima gwange n’ogwoli gwe wampa tube ffembi
Eyo gyali
Bingi ebimusobako kyenva nsaba mube mwembi
Amaaso amabi, emyoyo emibi
N’akalimu k’alina okamukuumire
Wansi w’enjuba
Kizibu kya kwawula omulungi n’omubi buli omu amwenya
Ng’ate bwendaba
Obwa busy bw’abaako n’obudde obufukamira oluusi okusaba nabwo bubula
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Mu mikono gyo, Taata
Mwentadde omwami wange
Mu mikono gyo, Taata
Mwentadde omwami wange
Omuwewuleko ebimuzitoowerera
(Saasira entuuyo ze afune)
Na buli mukisa gwo omuwerekera
(Ddaabiriza ensawo ye afune)
Musabidde, mukuwadde
Kululwe nfukamidde
Nga n’emikono ngigolodde, mukuwadde
Kululwe nfukamidde
Wansi w’enjuba
Kizibu kya kwawula omulungi n’omubi buli omu amwenya
Ng’ate bwendaba
Obwa busy bw’abaako n’obudde obufukamira oluusi okusaba nabwo bubula
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Ayi Katonda (nsaba mirembe)
Nfukamidde mu maaso go nga nsabayo ka second (awerekerwenga mirembe)
Ekindeese (nsaba mirembe)
Nsonga za mutima gwange n’ogwoli gwe wampa tube ffembi (awerekerwenga mirembe)
Eyo gyali
Bingi ebimusobako kyenva nsaba mube mwembi
Amaaso amabi, emyoyo emibi
N’akalimu k’alina okamukuumire
Wansi w’enjuba (nsaba mirembe)
Kizibu kya kwawula omulungi n’omubi buli omu amwenya (awerekerwenga mirembe)
Ng’ate bwendaba (nsaba mirembe)
Obwa busy bw’abaako n’obudde obufukamira oluusi okusaba nabwo bubula (awerekerwenga mirembe)
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.