Jacob Beats
Nkwebaza amakubo g’ogadde
Weebale essaala zotazzeemu
Ne bye nsabye notabimpa
Ondaze nti gwe Katonda
Nkwebaza bulumi mw’ompisa
Weebale kuba tebummazeewo ooh
N’abandese ne bagenda
Nze mmanyi olina ensonga
Oluyimba lukusuuta
(Oluyimba lukusuuta)
Ondaze nti gwe Katonda
(Ekitiibwa kikugwana aah)
Weebale amakubo g’ogadde
Nze mmanyi olina ensonga
Oluyimba lukusuuta
(Oluyimba lukusuuta)
Ondaze nti gwe Katonda
(Ekitiibwa kikugwana aah)
Luno oluyimba lukugwana
Weebale amakubo g’ogadde
Nze mmanyi olina ensonga
Ndowooza mu magezi gange nti oba tokola (eeh eh)
Bulumi mu mutima gwange nabwo busukka (eeeh eh)
Mmenyeka ne nseerera ngwa olumu wabula
Oluyimba lukusuuta, eeh
(N’ekitiibwa kikugwana)
Ne bw’olitwala byonna bye wampa gwe wabimpa (eeeh eh)
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
(Guno omutima gukusuuta)
Wansi mu mutima gwange mmanyi okiraba
Nti oluyimba lukusuuta
(Nsoberwa mu mutima gwange)
Ndowooza mu magezi gange nti oba tokola
(ŋŋonda ekisusse wamma)
Bulumi mu mutima gwange nabwo busukka
Mmenyeka ne nseerera ngwa olumu wabula
Oluyimba lukusuuta, eeh
(Ekitiibwa kikugwana)
Ne bw’olitwala byonna bye wampa gwe wabimpa
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
Wansi mu mutima gwange mmanyi okiraba
Nti oluyimba lukusuuta
Byokka ebikusanyusa
Bikolebwe mu bulamu bwange
Byokka by’oyagala
Ndi wano, salawo nga bw’olaba
Gw’amanyi lwaki natondebwa nze
Era lwendigenda
Gw’amanyi, amakubo amaluŋŋamu
Gokka mwe mbeera mpita
Ate era, nga ndi naawe
Ndowooza mu magezi gange nti oba tokola
(Binsukkako nze oluusi)
Bulumi mu mutima gwange nabwo busukka
(Binsukkako mukwano)
Mmenyeka ne nseerera ngwa olumu wabula
Oluyimba lukusuuta, eeh eh (naye)
Ne bw’olitwala byonna bye wampa gwe wabimpa
(Yee kaŋŋume nkulinde)
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
(Kannindire awo okumpi)
Wansi mu mutima gwange mmanyi okiraba
Nti oluyimba lukusuuta
(Oluyimba lukusuuta)
Ndowooza mu magezi gange nti oba tokola
(Ekitiibwa kikugwana)
Bulumi mu mutima gwange nabwo busukka
(Luno oluyimba lukusuuta aaah)
Mmenyeka ne nseerera ngwa olumu wabula
Oluyimba lukusuuta, eeh
(Nze kaŋŋume nkulinde)
Ne bw’olitwala byonna bye wampa gwe wabimpa
(Kannindire awo okumpi)
Nkusaba kimu ompe bulamu ebyo birikoma
(Oluyimba lukusuuta aah)
Wansi mu mutima gwange mmanyi okiraba
(Nti oluyimba lukusuuta)
Oluyimba lukusuuta
(Oluyimba lukusuuta)
Ekitiibwa kikugwana
(Ekitiibwa kikugwana aah)
Luno oluyimba lukusuuta
Weebale amakubo g’ogadde
Nze mmanyi olina ensonga
Oluyimba lukusuuta
(Oluyimba lukusuuta)
Ekitiibwa kikugwana
(Ekitiibwa kikugwana aah)
Luno oluyimba lukusuuta
Weebale amakubo g’ogadde
Nze mmanyi olina ensonga
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.