Glory Glory Lyrics – Judith Babirye

Glory Glory Lyrics – Judith Babirye

Eeeh (hmmm)
Oooh (hmmm)

Tuyimba glory glory
Omulokozi atuzaaliddwa (atuzaaliddwa)
Eno ssekukkulu (ssekukkulu)
Ssekukkulu ey’emirembe (oooh)
Tuyimba glory glory
Omulokozi atuzaaliddwa (emirembe)
Emirembe mu bantu be (emirembe)
N’omwaka omuggya ogulimu obuwanguzi

Ooh e Bethelekemu
Mu Buyudaaya
Waliyo omuwala
Erinnya lye Mariam
Azadde omwana
Mu kiraalo ky’ente
Omwana atuzaaliddwa
Ye Mulokozi
Laba eggulu livaamu oluyimba
Wulira bamalayika
Waggulu ennyo bayimba
N’emmunyenye ndaba zaaka
Omulokozi atuzaaliddwa
Glory glory glory

Tuyimba glory glory (ooh)
Omulokozi atuzaaliddwa (atuzaaliddwa)
Eno ssekukkulu (ssekukkulu abange)
Ssekukkulu ey’emirembe (emirembe)
Tuyimba glory glory (eeh)
Omulokozi atuzaaliddwa (eeh)
Emirembe mu bantu be (obuwanguzi)
N’omwaka omuggya ogulimu obuwanguzi (hmmm)

Obwakabaka bwe tebulina kkomo
Okusaasira kwe, tekuggwawo
Laba omwana gw’endiga amalawo ebibi byaffe
Ye mununuzi
Ye mununuzi ow’emirembe

Tuyimba glory glory (aaah)
Omulokozi atuzaaliddwa (atuzaaliddwa)
Eno ssekukkulu (ssekukkulu abange)
Ssekukkulu ey’emirembe (laba emirembe)
Tuyimba glory glory (ooh)
Omulokozi atuzaaliddwa
Emirembe mu bantu be
N’omwaka omuggya ogulimu obuwanguzi (oooh)

Eeeh eeeh…
Oooh oooh…
Eh

Abagezigezi okuva e buvanjuba
Bamutonera ebirabo
(Omwana gw’endiga, amalawo ebibi byaffe)
Baleese zaabu ne feeza
N’obuloosa obw’ebbeeyi
(Omwana gw’endiga, amalawo ebibi byaffe)
Glory glory glory eh (glory glory)
Glory yeah (glory glory)
Glory yeah, glory glory (glory glory)
Glory yeah (glory glory)
Tuyimbe eh (glory glory)
Glory glory (glory glory)
Atuzaaliddwa eeh eh (glory glory)
Omulangira w’emirembe (eeeh)

Tuyimba glory glory
Omulokozi atuzaaliddwa (atuzaaliddwa, oh)
Eno ssekukkulu (eno ssekukkulu abange)
Ssekukkulu ey’emirembe (eno ey’emirembe)
Tuyimba glory glory
Omulokozi atuzaaliddwa (eeh, eh)
Emirembe mu bantu be (emirembe, emirembe, emirembe)
N’omwaka omuggya ogulimu obuwanguzi (eeeh)

Tuyimba glory glory (eh tuyimba)
Omulokozi atuzaaliddwa (laba laba laba atuzaaliddwa)
Eno ssekukkulu (eno ssekukkulu abange)
Ssekukkulu ey’emirembe
(Nangirira nangirira obuwanguzi omwaka ogujja)
Tuyimba glory glory (nangirira obuwanguzi omwaka ogujja)
Omulokozi atuzaaliddwa (eeh, eeeh)
Emirembe mu bantu be
N’omwaka omuggya ogulimu obuwanguzi (eeeh eh yeah eh)

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply