Nga bwe nalaga nti nja kukyusa
Nkwate mu lugendo okudda
Ziizino zindeese
Ng’era nvudde Bukunja mu Kyaggwe
Nalaga nti nja kukyusa
Nkwate mu lugendo okudda eno
Ziizino zindeese
Ng’era nvudde Bukunja mu Kyaggwe
Kinnyongera essanyu bannange
Nga mbasanze mu mbeera eno
Kw’eno ensi etuwungula ng’obwato
Mukama yeebale atekya kkuuma
Ensi ng’etawaanya maama
Era mpaawo wali ddembe wano
Olaba n’obuto ebuyuuya
Obusanga buyaayaana bambi
Nga ne ku bakaddiye ekola bw’etyo
Abantu abaggwa edda amaanyi
Agazibu obafootolera awo
Kyokka tulabye bannange
Waliwo n’abafa enjala eyo
Mu bulumi obw’enjawulo
Nga n’amabujje osanga omwo
Ne bufa nga buteze obugalo bambi
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Obulamu buganzi nnyo nnyo eri ffe
Tubwagala okkira ebirala wano
Naye ensi kwebuli enzibu bw’eti
Etusuza tusindogoma tutyo
Okulumbibwa entalo ez’amaanyi
Endwadde ezitakyassa maama
Ogatteko abalyazamaanyi
Kko n’abemitima emitemu gityo
Nze singa sikyali bwenti
Kuba buli ke nkola nfunamu kko
Naye maama omulyazamaanyi
Y’antambuza ng’akannawunu nti
Olowooza n’obulwa eky’obikola
N’ojja omala gabeererawo otyo
Kuba ddala wazaalwa okaaba
Era tusiibulira mu miranga
Nze n’emitima bwegityo simanyi nze
Egitalina busaasizi egyo
Emiryake n’egyo emirulululu
Abaddu ba sitaani abo aaah
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Wano obukumpanya okufuuka eddiini
Nga n’atukulembera asinza atyo
Ne bavunnama ekiryazamaanyi
Bakaggwensonyi mutulya mpogola kati oh!
Ensi bw’etyo
Yo bw’etyo
Ddala bw’etyo
Olowooza n’obula eky’ogikola
Nze nali mmanyi nti bwendikula
Ndyambala ku mpanvu zino ndiba loodi
Tuzambala naye tuli luno
Nze mbula okugyambula nsigale ntyo
Agazibu gagimba ewange
Ne nja njulira okuggalawo enju
Mpaale n’ensi ŋŋende bwentyo
Omukama y’alimanya ye
Naye ate bwe ngira nkubamu kko
Ŋŋende nkaluubirire ani oyo?
Gw’oteeyabize oba nga muto
N’eka nga wawooma maama
Ensi empalabudde bannange
Ne gye ndaza sikyatunula nayo
Olw’agazibu agagwa nga laddu
Okutubuza essanyu engeri bw’etyo
N’abeetuga tusaana okukimanya
Nti tekuba kusiima ekyo
Nti oba kukkuta nsi nedda
Yesse mu lugendo bambi
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Aah nedda
Aah nedda
Aah nedda
Kitalo nnyo tulabye bannange
Nze nvubuse mmanyi nti kigambo kukaaba
Bakazi mpozzi n’abaana
Naye omusajja nzira ntya awo!
Ne nkaaba amaziga kiba kiki ekyo?
Ng’era mmanyi nti kigambo kukaaba
Ddala ddala kubeera kufiirwa
Mpozzi n’okukubwa okw’amaanyi
Naye nkaaba ntya ebirala ebyo?
Ddala bwali buto nga nvuya bwentyo
Wamma n’okukula kuba kwetta
Kuba kati nange simanya bwe kijja
Ndabira awo nga ndi mu miranga
Awo ne nzijukira ekya jjajja
Yakiŋŋamba tannazaawa bambi
Namubuuzanga ekimunywesa taba
Kko ye nti kula olimunywa
Ne neebuuza mu ngeri ki nze
Ogwo omukka gwe bafuuwa bazza
Ne ndayira naye akato bwentyo
Ki kye nnali mmanyi ekyomumaaso
Buli omu ne fayiro ey’agazibu ge
Oba okyalojja ebbwa erikulya eka
N’obikkulirirwa ku lya Paulo
Nga mulimu kookolo owomubyenda
Naye ate ndabye ebipali nze
Gwe buli kimu okuggukira wano
Ne bwe kuba kupanga bakyala
Buli gwe nfuna mbwa ya namaaso yiiyi!
Sitaani okutubuzaabuza atyo
Ng’agenda akema abantu eno
N’ajja atuyingiza agazibu atyo
Agatutuula ku mitima obutavaako
Obukyayi bwefuze abalala eno
Emitima gibasinga empiima
Nsula neeraliikirira nze
Kubanga n’abamu tuyita nabo
So nalabanga omugenzi maama
Ng’atambula yeewuunaganya ati
Ate yekka yekka bw’omu bwati
Kko nze ye kati ali ku ki ono?
Ebirowoozo bimba mu ddungu kati
Nga nzijukidde ebintu ebyo
Kuba kati nange ndabira awo
Nga mpunnuuna nga kawugguwuggu
Ensi etawaŋŋanya eno
Teweeyibaala k’obe mutiini
Babeere bakazi oba baana
Kuba ne ku bakaddiye ekola bw’etyo
Ensi etawaŋŋanya eno
Nze nange gwe weesiimisa ndi bwentyo
Obuusabuusa naye nedda
Kubanga kyatutonderwa munnange
Naye ng’ensi bw’eba ekola bw’etyo
Abato n’abakaddiye otukola eti
Ku bali mu nkomyo n’abalya obutaala etyo
Ne ku bakaggwensonyi ejja kikola
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.