Kino kyenneeyama ng’akalombolombo kange eky’okujja mbasunirenga endongo
Ndi mwana waawano ate omudongo omutendeke owaddala muganda wammwe Kafeero
Temumbuusabuusa ne mu bika by’Abaganda nsibuka mu kya jajja wange Mugema
Kabube ttumbi wakati bwendigenda mukonkone anzigulira taboola bantu ba Kika
Obwo bubeera butalaba okuleka wali muganda wo n’ozza gwotomanyi ku lusegere
Mukyawulanga ku kusosola okuba kuba kumanya musaayi gwo nga n’enda ebagatta ye tabaganya
Ndi mumalirivu nnyo okufiira kukyantumwa kyo ekyo eky’omulimu gwange nsobola
Ŋŋumidde n’okuvumibwa eyo yonna gyempita nti era n’ekitiibwa kyange kitono
Sso nsikiriza n’abagwenyufu mu nkoba za guitar, wendi wonna bawola nebateeka
Ebigambo ebikonjere byebajja bansomaasoma nabikwasa musumba wange Katonda
Ngiyizza obuyimba bungi
Era mbyatulira mu lulimi Luganda
Ne mu maaso ga bakama bange
Nfuba okola ekituufu era ŋŋonze
Siyinza kweyisaayisa kikungu
Ebyo by’ewaka wange nga ŋŋenze
Singa eyo y’eyali enneeyisa mwendi
Mpaawo yandintegedde mu mmwe, nsenvudde!
Abo be weesiga b’oggulira n’ebyama byo munnange beegenderezenga bakakkali
Omuntu gw’onyumya naye omufudde na muganda wo okufuukira obutwa ssebo kyangu nnyo
Emikwano tegyewalwa era kizibu okubeera mu nsi nga weemaliridde gwe oli omu
Nze awo nkoteka omutwe nga nkubyamu gyendiseegera okuwugula endowooza zange abantu
Nkugambye tebagendeka gwe n’abo b’ojuna weeyolera mayute ga mu kkundi
Omuntu gw’onyumya naye nga muteesa ekisaanira mwogera ku ngulu nga munda ngo bugo
Tufaanana bukkapa kuba osobola okuzannya nako naye okakwata mu kibatu olwo olunyumya
Essanyu lyatusiibula ensi yonna n’edobonkana okuva kw’oyo gw’olina ku lusegere
Nze sibagambye muve ku bammwe
Era sikugaanye bawe balye
Naye abo b’olaga omukwano bw’otyo
Bebakulojja nti mwawola
Munno wo gw’oyiiyiza akalungi
Y’akwogerako nti weegula gy’ali emikwano gitye
Bataayi nkoteka omutwe nga nkubyamu gyendiseegera okuwugula endowooza zange abantu
Ebyererezi gyebiri mw’osobola ozimbako neweesumalika obwanamunigina
Naye ng’ebyo tubyelesa eddungu teryesoggeka okuva mu baganda bo ekyo kikakali
Gwe ago amabala g’olaba ne langi z’obafaananya ziba za ngeri ku ziba mu myoyo ate
Zifuuka n’ebiro ebimu mu ngeri gy’otaziteebeza ffe lwabutaziraba munda muli
Nange ntuula ewange nennyaniriza ne gwemmanyi omubi gw’ate n’azimba ŋŋanyulwe ki?
Naawe oyo mupangire kuba akwekubako ojune naye kaanasomoka eryo ejjengo
Bw’aliyima wewamugwanyiza ekkompola ly’alisindika ndifaananya mbwa ya ku kisanvu
Ssebo oliva ne ku by’okola omale obune obufo okunoonya w’oneewogoma ekitalo
Kati wano omulaga ekkubo era omwefubako ayige naye alina ekitala mu nsawo ye
Ab’emikwano bantamye nze gw’olaba
Okuva ku kyendabye mu nsi omuto nti
Ne kaakati nalinnye ku brake
Okukuggulira ekyange mba nkusiimye
Ne bensekera nondamu balonde
Baakimmalako lwebansinisa amannyo
Nina warning eri abagwa obuzoole
Nebaneetemerako mu lujjudde, mwegendereze!
Oyo nfa nfe wo gw’oyanjalira n’ekisenge kyo beebamu ku batuyita abo emmanju
Akeera n’ewuwo okumwazika ky’oyambala era n’omulondera ekyo ekinyuma
Bw’amala y’abyogera ng’weebuuka mubataamanya nti Kafeero alina ebizibu mu ngoye ze
Gwe lwaki tonzibirako omuntu eyajja awanjaga nze nga nakwesiga nenkujuna?
Z’ezo langi zenkukuutira ajja na ndala gy’olaba tafaanana bwatyo munda muli
Wano ajja bw’omu ewuwo era omwaniriza naye alina ekkumi awo emabega
Amagimbi gababunye ku myoyo ba nkwe
ezitagambika nze bandippako ku kkoligo
Mu kufunvubira ennyo okole n’okwerwanako ofune oyita mu buzibu obugudde akaleka
Ziba nsaalwa mu bootolaba okukwebaza n’okwesesa bakutimba bbula gwe butamanya
Teweekanganga ebyonziira ekyo bwekiba kirina okuba nga baagala okomya oyo ayitawo
Bakusiima wabirwanyisa wano mu kujja obaazike abamu nno kuba na kuwaalirira
Bangi nnyo tubaazise bw’amala okufumya ekyamuweebwa ng’adda wuwe ng’abunira
Gwe gwenyumiza teweeyibaala naawe
Akanaakulyako amenvu go bwekajja
Kasooka okususa nga naawe weesesa
Ekyakaleese okyevuma okakwanye
N’abakondeere bakwanya mikka bwebatyo
Gw’abalaba n’obatenda okuteesa
Mu mitima mubaabeeramu obuwaayi
Gyebakwanya egyo gibeera mikka bukka ssi nda zaabwe
Nze k’empisa ziŋŋwenyuke gube musango mu myoyo gyammwe sikitidde kuba ntegedde abantu
Nafuuse kigere kya mbogo bakyegezaamu weetaba sso bwetukwolekanya okwenyezebwa
Nze kati nkola byange sikola kusiimwa batantuma oyo atayagadde ng’alekayo
Nakyuse ne mu nneeyisa abo abaali bataayi bange mbatunuulira kati mbapima
Nze era nabatidde nnyo okumpemukira bwebatyo era kwekupanga bwentyo ebintu
Ab’emikwano nabayimbye lwakumpemukira bwebatyo nze kwekuyimba bwentyo ensonga
Entegetege zibakankanye okunkomya obutwa ku mumwa ate nenkibalanga batidde nnyo
Mbanjadde nnyabula munoonye eky’okunkola nze omwana w’embuga nniigiina
Bampe kugenda kulaba ku bannyinaze
Mbanyumize kyenneekoze e Buganda
Nja na kuyita mwa muzeeyi bwentyo
Eyo gye n’ava byolere mu bidongo
Bassebo y’ensonga eyo bwetyo
Kati kanjabule ab’emikago bwentyo nja kudda mangu
Discover more from Kamuli Post
Subscribe to get the latest posts sent to your email.