Ekitaawuluzi Lyrics – Mathias Walukagga

Ekitaawuluzi Lyrics – Mathias Walukagga

Asoggola aligguula
Kw’omanyira ssi ye nannyini mbooli
Asoggola aligguula
Kw’omanyira ssi ye nannyini mbooli
Okugeza ng’omukazi nga yakusiba abaana
Abimba obusungu obulimu deal
Ebitangaaza ke mmaze obikka
Yogaayoga nga bimbunye amaaso
Teri mukazi ng’omuzaddemu abaana
Ayinza okukuteeka ku bunkenke atyo
Nze ninga nkuba atannaba kimanya
Kyesanga mu luggya ky’etobya
Ow’omutima ogubuguma vvaawo
Eddagala ndeese likaawa kyanguko okudda
Abo abakyala atabatya ntya ggwe!
Ku kigambo byanfuna basuulawo eddiini
Kulwokuba nga mwadigidamu kko eyo
Akusiba omwana gw’amanyi ssi wuwo
Ekyama n’akisirikira ebbanga
Gwe kitawe n’ofaabiina okkuliza
Ne mu mateeka n’akutwalayo oluusi
N’oweebuukana bw’osuulirira abaana

Singa ssi bufunda bwa nsawo buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule
Buli awali leeba gavumenti ngisaba esseewo ekyuma kibe kitaawuluzi

Nakirabidde ku Afere Deo
Omukazi yamugoba n’ewaka e Sunga
Ng’akalimu kamuweddeko alomba
Kko ne ssente ezibaweerera abaana
Emirembe gyamuggwaako Deo
Nga buli lw’adda ewaka avumibwa ng’akaana
Kumbe ekitiibwa ky’awaka okukikonga olusu
Abaana baali ba Male e Kyaggwe
Lwa bufuna mpola nze kyemmaze okenga
Buli musajja yaalikebezza abaana
Nfukamidde nga nsaba gavumenti wano
Buli webazaalira etuteerewo ekyuma
Ng’omwana oluyingira ensi eno
Mu kitaawuluzi mw’aba ateekwa osooka
Obwenzi bwandisibamu osaaga
Ebyanguwa nebujja buddayo egindi
Mukazi ki alisalawo ekyuma
Kimulonkome nga bweyamenyaamu cake?
Deo aba ali Kyabbogo kitawe
Gyeyapangisa akasenge ayiiye ensi empya
Ow’olugambo n’amubbirako ntinno
Mu maka gyewava weewuluntayo essajja
Lyandiba eritabbuliiki nno
Kuba empale zaalyo ezisingayo nkomole
Lijja neryewejjeekawo enzingu
Mwattu n’abaana baalifaananye okamala
Tebaba abaana b’eritabbuliiki eryo
N’okuba nga ky’ekyakugobya e Sunga
N’aleeta musajja we ow’edda
Deogratious waalikebezza abaana
Ba mugumu oba tolina ssente
Nze nzuuno neesowoddeyo okuwola
Teri mukazi alikugoba nkakasa
Mu maka nga yeggwe taata w’abato ŋŋaanye

Singa ssi bufunda bwa nsawo buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule
Buli awali leeba gavumenti ngisaba esseewo ekyuma kibe kitaawuluzi

Yali yakiwulirako Deo
Mu mpulubujju nti eriyo akaayanira abaana
Kale yakeera bwannawankya awo
Ku poliisi n’ajja aggulawo fayiro
Kkooti n’ekkaatiriza nti nno
Deo agende akebeze abaana
Omukazi n’apanga nnyo obiremya
Naye poliisi n’ebiteekamu force
Omusaayi baagubaggyako abaana
Bonna abasatu nenkulabira effirimu
Results nga zimaze okudda
Kwabulako azaalibwa Lwanga Deo!
Omukyala n’awemuka nnyo nnyo
Era ne kkooti n’ejja esalawo nga yo
Nti ennyumba omwagobwa Lwanga Deo
Emuddire era baakola nsobi omulumya
Yali awo asaba ne school fees mbu
Zeyawangayo ku baana abatali ate babe
Kkooti n’ekisazaamu kyo ekyo
Nti kasita obulamu obusigazza Deo

Singa ssi bufunda bwa nsawo buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule

Abasajja muli mu kiti ng’ekyo
Muzeeyi Lwanga kati ate anoonya buto ezzadde
Bandiba nga b’olabirira ssi babo
Mutaayi wange waalikebezza abaana
Waliyo n’aba akuteze olubbo
Omwana n’akufaanana ennyindo
Kibeera kibi n’otwaliriza emyaka
Eno mu buzeeyi n’abakuggyako nnyaabwe
Amaziika go negajja gawewuka okamala
Nti ebyafaayo by’omugenzi talese zzadde
N’abawala bewaalizaddemu abaana
Bagamba ani agenda n’omuzeeyi oyo?
Okuggwesa kw’enswa tekundiisa nkuyege abataka
Enkola ya wano omanyi akabasukka omumiro
Mulisamba ettale munoonye alingya mu ngatto
Ŋŋenze Kyengera abalungi nkole ku nguudo
Eby’obulamu n’obuyonjo byonna okubikwasaganya
Hmmm, n’ekibbattaka ndabe nga kifuuse olufumo
Awangaale omwana wa Muteesa
Yenze Walukagga mbasiibudde

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply