Beewaayo Lyrics – Catholic Church Hymns

Beewaayo Lyrics – Catholic Church Hymns

Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna
Tumanyi Makaayi ne banne
Abaaleeta Yezu Omulokozi yekka

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Baabatemako emikono ne babasiba
Mu kabazzi ne babooca nga balaba bonna
Baali bato abaasoma akatono
Yezu eyeebazibwa najulirwa leero

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Ekyewuunyisa Balikuddembe
Gonza ne Kaggwa nabo abo baali bagumu
Baabatemako emikono
Baabasalako ebigere
Ne batemwatemwa obufiififi bonna
Walukagga ne Rugarama, Kakumba ne Mukasa
Lukka, Kadoko ne Munyangabyanjo
Okukkiriza kwe mwalaga n’obuvumu
Bwemutyo ne mubeera abasaale baffe

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Mukaajanga yatuuyana n’atawuka
Nga bookebwa
N’abamu nga batemebwatemebwa
Mwalimu n’omwana gw’azaala
Kw’olwo kyamubuukako
Naye bwe yakkiriza

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Baali bumu nga bookebwa omuliro
Ne wataba n’omu awanjaga ateebwe
Baali ku kimu ekya kusaba obusabi
Yezu gwe bakkiriza atwale emyoyo gyabwe
Waliwo n’amaanyi g’akozesa
Yezu eri bonna abamwesiga bulijjo
Omuliro ogw’entiisa n’omusaayi oguyiika
Yezu yalinga wakati waabwe

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Twewaddeyo naffe olwaleero
Gy’oli Yezu gwe Omulokozi wekka
Tuli bagumu ng’abalenzi bali
Nga twesiga amaanyi go okutuusa lw’olidda

Alleluia
Ku lwa Yezu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Submit Corrections


Discover more from Kamuli Post

Subscribe to get the latest posts sent to your email.

Leave a Comment

Comments

No comments yet. Why don’t you start the discussion?

Leave a Reply